Isaiah 29:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbiina ly'amawanga gonna agalwanyisa Ariyeli, n'ago agamulumba, agazinda ekigo kye n'okumulabya ennaku, galiba ng'ekirooto, ng'okwefaanaanyiriza kw'ekiro;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ebibinja by’amawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba, birirumba n’ekigo kye ne bimutaayiza; kiriba ng’ekirooto, ng’okwolesebwa mu kiro
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekibiina eky'amawanga gonna agalwana ne Alyeri, gonna agalwana naye n'ekigo kye, n'abamuteganya, kiriba ng'ekirooto, okwolesebwa okw'ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagye g'amawanga gonna agalwanyisa ekibuga ky'alutaari ya Katonda, ne galumba ebigo byakyo ebigumu, ne gakiteganya bulala, galivaawo ng'ekirooto, oba ng'ebyefaanaanyirizibwa mu kiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekibiina eky'amawanga gonna agalwana ne Alyeri, gonna agalwama naye n'ekigo kye, n'abamuteganya kiriba ng'ekirooto, okwolesebwa okw'ekiro.