Isaiah 29:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'omuyala aloota ng'alya, n'azuukuka ng'enjala ye ekyamuluma, era ng'omuyonta aloota ng'anywa, n'azuukuka nga muyongobevu, ng'akyali muyonta, n'ebbiina ly'amawanga gonna agalwanyisa olusozi Siyoni bwe liriba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya naye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala; oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa naye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta. Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonna agalwana n’Olusozi Sayuuni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kiriba ng'omuyala bw'aloota, ng'alya naye n'azuukuka, ng'akyalina enjala, oba ng'ow'ennyonta bw'aloota, ng'anywa amazzi, naye n'azuukuka, ng'amunafu ng'alina ennyonta, bwe kityo bwe kiriba ekibiina eky'amawanga gonna agalwana n'olusozi Sayuuni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'omuyala bw'aloota ng'alya, n'azuukuka ng'enjala emuluma; oba ng'omuyonta bw'aloota ng'anywa, kyokka w'azuukukira mu tulo ng'ennyonta emuli bubi, azirika, ng'emukazizza n'emimiro, n'amagye gonna agakuŋŋaana okulwanyisa Olusozi Siyooni nago bwe galiba bwe gatyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kiriba ng'omuyala bw'aloota, era, laba, ng'alya naye n'azuukuka, n'obulamu bwe nga tebukkuse: oba ng'ow'ennyonta bw'aloota, era, laba, ng'anywa; naye n'azuukuka, era, laba, ng'azirika n'obulamu bwe nga bwoya: bwe kityo bwe kiriba ekibiina eky'amawanga gonna agalwana n'olusozi Sayuuni.