Isaiah 29:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwuniikirire, mwewuunye, muzibe amaaso gammwe, mubeere bamuzibe; mutamiire, sso si vviini, mutage, sso si lwa mwenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwuniikirire era mwewuunye Muzibirire era muzibe amaaso; Batamiire, naye si na nvinnyo, batagala, naye si lwa mwenge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mudde awo mwewuunye era mwesiruwaze, muzibe amaaso gammwe, Mutamiire, naye si na mwenge; mutagatte, naye si na kitamiiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mudde awo mwewuunye! Mwesiruwaze, muzibe amaaso! Mutamiire, nga temunywedde mwenge! Mutagatte, nga temukombye ku kitamiiza!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulindirire mwewuunye; mwesiimire ddala muzibe amaaso: batamidde, naye si na mwenge; batagatta, naye si na kitamiiza.