Isaiah 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuno Omukama Katonda w'Amagye, agenda kuggya ku Yeruzaalemu ne Yuda buli nsako na buli buyambi: ensako y'emmere n'obuyambi bw'amazzi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba kaakano, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza ne kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, Mukama, Mukama ow'eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza n'ekyo kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna eky'emmere, n'ekibeesiguza kyonna eky'amazzi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abange, mulabe Mukama, Afugabyonna, Nnannyinimagye, anaatera okuggya ku Yerusaalemu ne ku Buyudaaya, buli kintu kye mwetaaga okweyimirizaawo. Agenda okubaggyako emmere n'amazzi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga; laba, Mukama, Mukama ow’eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza n'ekyo kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna eky'emmere, n'ekibeesiguza kyonna eky'amazzi;