Isaiah 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubi zimusanze! Kubanga akabi kamutuukiridde; anti ajja kuyisibwanga ng'emikono gye bwe gyakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira! Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zisanze omubi! anaabanga bubi, kubanga emikono gye kye gy'akola, naye kyalikolebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ababi zibasanze, banaabeeranga bubi, kubanga bye bakoze, nabo bye binaabakolwangako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zisanze omubi anaabanga bubi: kubanga anaaweebwanga empeera y'engalo ze.