Isaiah 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bange amabujje gababonyaabonya; abakazi babafuga. Wattu bantu bange, abakulembeze bammwe babawabizza; batabula ekkubo lye mwandikutte.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bange banyigirizibwa abaana abato, abakazi kaakano be babafuga. Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bange bajoogebwa abaana abato, era abakazi be babafuga! Woowe abantu bange, abakulembeze bammwe babakyamya, baabaggya mu kkubo ettuufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bange, abanyigirizibwa baana bato, era bakazi be babafuga! Ayi mmwe abantu bange, abakulembeze bammwe babakyamya, babaggya ku bituufu, ne babakozesa ebikyamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bange abaana abato be babajooga, era abakazi be babafuga. Woowe abantu bange, ababakulembera babakyamya, era bazikiriza ekkubo lyammwe eritambulirwamu.