Isaiah 3:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama awozesa abakadde n'abakulembeze b'abantu be nti: “Mmwe mwonoonye ennimiro yange ey'emizabbibu; bye mwabba ku banaku biri mu mayumba gammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda asala omusango gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be. “Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu. Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anaasalira omusango abakadde n'abakulembeze b'abantu be. Abalumiriza bw'ati, “Mmwe munyaguludde ensuku z'emizabbibu; era bye munyaze ku baavu biri mu nnyumba zammwe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama anaasalira abakulembeze n'abakungu b'abantu be omusango. Abalumiriza bw'ati: “Munyaguludde ennimiro z'emizabbibu, era amayumba gammwe gajjudde ebintu bye munyaze ku baavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama alisala omusango gw'abakadde b'abantu be n'abalangira baabwe: Mmwe mwaliira ddala olusuku lw'emizabbibu; omunyago gw'omwavu guli mu nnyumba zammwe: