Isaiah 3:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugenderera ki okubetenta abantu bange, ne mumerengula amaaso g'abanaku?” Omukama Katonda w'Amagye y'ayogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki mulinnyirira abantu bange, lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mubadde mutya mmwe ababetenta abantu bange, lwaki mutulugunya abaavu? Bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubadde mutya, mmwe ababetenta abantu bange, ne munyigira abaavu ku lwala ng'enkukunyi? Nze Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye, Nze mbuuza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mubadde ki okubetentanga abantu bange, n'okusanga amaaso g'abaavu? bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.