Isaiah 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti: “Kubanga bawala ba Siyoni beewanise, batambula banudde ensingo, batemyako n'amaaso gaabwe, batambula beerinnyako, n'obunyere ku magulu obugenda buvuga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda agamba nti, “Abakazi b’omu Sayuuni beemanyi, era batambula balalambazza ensingo nga batunuza bukaba. Batambula basiira nga bavuza obukomo bw’oku magulu gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama agamba nti, “Abawala ba Sayuuni balina amalala, era batambula nga balalambaza ensingo, era nga batunuza bukaba, batambula basiira nga bakoona engatto zaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama era n'agamba nti: “Abakazi b'omu Yerusaalemu balina amalala. Batambula balalambazizza ensingo, era nga batunuza bukaba. Batambuza ssimbo, nga bagenda batta ku bigere, nga bakoona engatto ziwulirwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Mukama yayogera nti Kubanga abawala ba Sayuuni balina amalala, era batambula nga balalambaza ensingo era nga balina amaaso ag'obukaba, nga batambula era nga bakumba bwe bagenda, era nga bavuza ebigere byabwe: