Isaiah 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ajja kulumisa bawala ba Siyoni ebiguuna; ajja kubameza ebiwalaata mu bwetikkiro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gy’abakazi ba Sayuuni, ne gifuuka gya biwalaata.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyaliva afuula emitwe gy'abawala ba Sayuuni egy'ebiwalaata, baswale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo, Nze Mukama, emitwe gyabwe ndigifuula gya biwalaata, ne gisigala nga tekuli nviiri, baswale.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyaliva alwaza ebikakampa obwezinge bw'omutwe gw'abawala ba Sayuuni, Mukama n'abikkula ku nsonyi zaabwe.