Isaiah 3:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kifo ky'eby'akaloosa walibaawo kivundu, mu kifo ky'emisipi, miguwa; mu kifo ky'enviiri enjoojole, kiwalaata; mu kifo ky'ebyambalo eby'ekitiibwa, bikutiya; mu kifo ky'obubalagavu mu maaso, njokyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu, awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa, n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata, mu kifo ky’engoye babeere mu nziina, n’awaali obulungi waddewo obulambe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka mu kifo ky'akaloosa walibaawo kuwunya kivundu. Mu kifo ky'olwebagyo, balyesibya miguwa. Mu kifo ky'enviiri ensunsule obulungi baliba na biwalaata. Mu kifo ky'engoye ennungi balyambala nziina, obulungi bwabwe bulifuuka nsonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kifo ky'ebyakawoowo, baliwunya kivundu. Mu kifo ky'olwebagyo, balyesibya miguwa. Mu kifo ky'enviiri ensunsule obulungi, baliba na biwalaata. Ne mu kifo ky'engoye ennungi, balyambala bikutiya. Obubalagavu bwabwe bulifuuka nsonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka awaali eby'akaloosa walibaawo ekivundu; n'awaali olwebagyo mugwa; n'awaali enviiri ensunsule obulungi kiwalata; n’awaali ekizibawo kwesiba kibukutu: awaali obuyonjo kwokebwa.