Isaiah 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalenzi obulenzi be ndifuula abakungu mu bo, ate amabujje ge ganaabafuganga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe, n’abaana obwana balibafuga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndireeta abalenzi okuba abalangira baabwe, era abaana abawere balibafuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alireka abantu be okukulemberwa abalenzi abato, abafuga nga bakyukakyuka mu nkola yaabwe awatali nsonga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndireeta abaana okuba abalangira baabwe, era abaana abawere balibafuga.