Isaiah 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu, omu alibonyaabonya munne, omusajja musajja munne, ne muliraanwa muliraanwa we; abaana baliyimukira mu bakulu, n'abakopi mu beebitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abantu balijooga bannaabwe, buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we. Abato baliyisa mu bakulu amaaso n’oyo omuntu ataliiko bw’ali ajooge omuntu ow’ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abantu balijoogebwa, buli muntu alijooga munne, na buli muntu muliraanwa we; omuvubuka aligirira ekyejo omukadde, n'omukopi aligirira ekyejo ow'ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu tebalissaŋŋanamu kitiibwa. Abaana abato balijooga abantu abakulu, n'abatwalibwa balinyooma bakama baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abantu balijoogebwa, buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we: omuto aligirira ekyejo omukadde, n'omukopi aligirira ekyejo ow'ekitiibwa.