Isaiah 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu alikwata omu ku baganda be mu nnyumba ya kitaawe, n'agamba nti: “Ggwe olina omunagiro, ggwe beera omukulembeze waffe, fuga ebifulukwa bino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiseera kirituuka omusajja agambe muganda we nti, “Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe, n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'alikwata muganda we mu nnyumba ya kitaawe, ng'ayogera nti “Ggwe olina eby'okwambala, beera mufuzi waffe ggwe, ne ntumu ya bino ebyonoonese, bibeere wansi w'omukono gwo,”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kirituuka abazaalibwa mu nnyumba emu, ne bagamba omu ku baganda baabwe nti: “Waakiri ggwe nga bw'olina k'oyambala, ggwe oba otukulira, olabirire bino ebifaafaaganye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'alikwata muganda we mil nnyumba ya kitaawe, ng'ayogera nti Ggwe olina eby'okwambala, beera mufuzi waffe ggwe, a'okubula kuno kubeere wansi w'omukono gwo: