Isaiah 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo oli alireekaana nti: “Nze siri musibi wa biwundu; omwange temuli kyakulya yadde ekyokwambala; muleke kunfuula mukulembeze wa bantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti, “Si nze n’aba ow’okubawonya, mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo. Temumpa kukulembera bantu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ku lunaku olwo aliddamu nti, “Si nze nnaaba ow'okubawonya, kubanga mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo: Temunnonda kubakulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku olwo, alyerwanako ng'agamba nti: “Sijja kubaako kye nnyamba, kubanga ewange nange sirinaayo mmere, wadde olugoye olw'okwambala. Temunnonda kubakulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku lunaku olwo aliyimusa eddoboozi lye, ng'ayogera nti Sijja kuba muwonya; kubanga mu nnyumba yange temuli mmere newakubadde eby'okwambala: temujja kunfuula mufuzi wa bantu.