Isaiah 3:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entunula yaabwe ebasalira omusango; ekibi kyabwe bakiraalaasa nga Sodoma, tebakibikkirira nako. Zibasanze! Kubanga beereetedde bennyini akabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango, era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu awatali kukweka n’akatono. Zibasanze! Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango, ebibi byabwe babikola kyere ng'ab'e Sodomu, tebabikisa. Zibasanze, kubanga bo bennyini be beereetedde obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entunula yaabwe yennyini, ebalumiriza omusango. Ebibi byabwe babikola kyere ng'ab'e Sodoma, tebabikisa. Zibasanze, kubanga beereetedde bokka akabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekifaananyi ky'obwenyi bwabwe kitegeeza nga gubasinze; era babuulira ekibi kyabwe nga Sodomu, tebakikisa. Zisanze obulamu bwabwe! kubanga beesasulidde bokka obubi.