Isaiah 30:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zibasanze, abaana abajeemu,” Omukama y'agamba, “abatuukiriza entegeka sso nga si yange, abakola emikago naye nga si ku lwa Mwoyo wange, ne mutuuma ebibi ku bibi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zibasanze abaana abajeemu, Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza ne batta omukago awatali Mwoyo wange ne bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze abaana abajeemu, bw'ayogera Mukama, abakola enteekateeka, naye nga si zange; Ne batta omukago naye nga si mu mwoyo gwange, balyoke bongere ekibi ku kibi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Zibasanze abaana abajeemu, abagoberera entegeka ze sikoze, era abakola endagaano ey'enkolagana n'abalala nga Nze sikkirizza, ne bongera ekibi ku kibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze abaana abajeemu bw'ayogera Mukama, abateesa ebigambo, naye si nange; era ababikka n'ekibikka, naye si kya mwoyo gwange, balyoke bongere ekibi ki kibi: