Isaiah 30:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bagamba abalabi nti: “Mulekere awo okulabikirwa”, n'abalanzi nti: “Temutulangira bituufu; mutubuulire bisanyusa; mutubuulire bya kwefaanaanyiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagamba abalabi nti, “Temuddayo kufuna kwolesebwa,” N’eri bannabbi boogera nti, “Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu. Mututegeeze ebitusanyusa, mulagule ebituwabya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abagamba abalabi nti, “Temulaba,” n'abalaguzi nti, “Temutulaguliranga bya mazima,” mutubuulire ebitusanyusa, mulagule eby'obulimba,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bagamba abalabikirwa era n'abalanzi nti: ‘Mukomye okulabikirwa Temulanga bituufu bye mulaba. Temutubuulira bya mazima wabula ebyo ebitunyumira. Mulange ebitulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abagamba abalabi nti Temulabanga; n'abalaguzi nti Temutulaguliranga bya mazima, mutubuulire ebiweweevu mulagule eby'obulimba: