Isaiah 30:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'Omutuukirivu wa Yisirayeli kyava agamba nti: “Kubanga ng'ekigambo kino mukigaye, ne musuubirira mu kukola obubi ne mu bulyake, ne mwesiga ebyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Olw’okugaana obubaka buno, ne mwesiga okunyigirizibwa, ne mwesiga omulimba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyava ayogera Omutukuvu owa Isiraeri nti, “Kubanga munyoomye ekigambo kino ne mwesiga okujooga n'obubambaavu ne mwesigama okwo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omutuukirivu wa Yisirayeli kyava agamba nti: “Nga bwe munyoomye ebyange ne musiima okujooga n'okukola eby'effujjo, ne mweyinula ebyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyava ayogera Omutukuvu owa Isiraeri nti Kubanga munyoomye ekigambo kino ne mwesiga okujooga n'obubambaavu ne mwesigama okwo;