Isaiah 30:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno ekibi kino kiribabeerera ng'ekisenge ekiwanvu ekibomole, ekibunduukiridde, ekinaagonnomoka amangu ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu, alimu enjatika era azimbye, okutemya n’okuzibula ng’agudde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
obutali butuukirivu buno kyebuliva bubeera gye muli ng'ekituli ekiwagule ekyagala okugwa, ekizimba enkundi mu kisenge ekiwanvu, okumenyeka kwakyo kujja mangu ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
muzzizza musango ogubafudde ekisenge ekigulumivu ekizzeemu olwatika. Mujja kubomoka mugwe mangwago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutali butuukirivu buno kyebuliva bubeera gye muli ng'ekituli ekiwagule ekyagala okugwa, ekizimba enkundi mu kisenge ekiwanvu, okumenyeka kwakyo kujja mangu obutamanyirira.