Isaiah 30:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiryatika ng'ensumbi ne kimulungukira ddala, ne wabulawo n'akatundu kaakyo akasangibwa okukuŋŋaanyizaako amanda okuva ku kyoto, yadde akaggyo okusenesa amazzi okuva mu luzzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba, n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira, era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto, oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era alikimenya ng'ekintu eky'omubumbi bwe kimenyeka, ng'akimenyamenya awatali kusaasira; n'okulabika ne watalabika luggyo mu bitundu byakyo olw'okusena omuliro mu kyoto, oba olw'okusena amazzi mu kidiba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulyatika ng'ekintu eky'ebbumba ne mumenyekamenyeka, obutasigalawo katundu ka luggyo kayinza kusena muliro mu kyoto, wadde amazzi mu kidiba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alikimenya ng'ekintu eky'omubumbi bwe kimenyeka, ng'akimenyamenya awatali kusaasira; n'okulabika ne wataabika lugyo mu bitundu byakyo olw'okusena omuliro mu kyoto, oba olw'okusena amazzi mu kidiba.