Isaiah 30:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda, Omutuukirivu wa Yisirayeli, kino ky'agamba: “Mu kweddamu ne mu butebenkevu mwe mulirokolerwa; mu busirise ne mu bwesige mwe muliba amaanyi gammwe; naye mmwe temwakyagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe, mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe, naye temufuddeeyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti, “Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe,” mmwe temufaayo
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna Omutuukirivu wa Yisirayeli kyava agamba nti: “Mudde gye ndi, muweere, olwo Nze ndyoke mbayambe. Mutereere, munneesige, mulyoke mube ba maanyi.” Naye mmwe mugaanye!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe: mmwe ne mutayagala.