Isaiah 30:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula mwagamba nti: “Nedda! Tujja kuddukira ku mbalaasi.” Kale ggwe mulidduka! Era nti: “Tugenda kwebagala mbalaasi eziwenyuka.” N'olw'ekyo n'ababagoba bagenda kubeera bawenyusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’ Kyoliva odduka. Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’ Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne mugamba nti, “Nedda, kubanga tuliddukira ku mbalaasi;” kyemuliva mudduka, era nti, “Tulyebagala ku z'embiro;” abalibagoberera kyebaliva babeera ab'embiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugamba nti: “Nedda! Tujja kwebagala embalaasi tudduke abalabe baffe.” Kituufu mujja kudduka. Embalaasi zammwe mulowooza nga zidduka nnyo. Naye ez'abo ababawondera ze zisinga okuba n'embiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne mugamba nti Nedda, kubanga tuliddukira ku mbalaasi; kyemuliva mudduka: era nti Tulyebagala ku z'embiro; abalibagoberera kyebaliva babeera ab'embiro.