Isaiah 30:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olukumi lugenda kudduka ng'omu yekka y'ababoggoledde, ate abataano bwe balibaboggolera mugenda kudduka, okutuusa lwe mulisigala ng'omulongooti ku ntikko y'olusozi, ng'ebendera ku kasozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu olukumi balidduka olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu; Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano, olidduka, Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi, ng’ebendera eri ku kasozi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olukumi balidduka olw'okuboggola kw'omu; olw'okuboggola kw'abataano mulidduka, okutuusa lwe mulisigala ng'omulongooti oguli ku ntikko y'olusozi, era ng'ebendera eri ku kasozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu bw'alibaboggolera, mmwe mulidduka lukumi. Bwe muliboggolerwa abataano, olwo mwenna mulidduka, ne musigala kinnoomu ng'omulongooti oguli ku ntikko y'olusozi, ne bbendera eri ku kasozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olukumi balidduka olw'okuboggola kw'omu; olw'okuboggola kw'abataano mulidduka: okutuusa lwe mulisigala ng'omulongooti oguli ku ntikko y'olusozi, era ng'ebendera eri ku kasozi.