Isaiah 30:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso nno Omukama abalindirira abasaasire; kyava asituka abasaasire, kubanga Omukama ye Katonda ow'obwenkanya; beesiimye bonna abamulindirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli; era agolokoka okukulaga okusaasira. Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya, balina omukisa bonna abamulindirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama kyaliva alinda, abakwatirwe ekisa, era kyaliva agulumizibwa abasaasire, kubanga Mukama Katonda alaba ensonga; balina omukisa bonna abamulindirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula Ye Mukama alinze ng'ayagala abakwatirwe ekisa. Yeetegese okubasaasira, kubanga Mukama Katonda bulijjo by'akola byonna bituufu. Beesiimye wamma bonna abamwesiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama kyaliva alinda, abakwatirwe ekisa, era kyaliva agulumizibwa abasaasire: kubanga Mukama Katonda alaba ensonga; balina omukisa bonna abamulindirira.