Isaiah 30:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe abantu abali mu Siyoni, ababeera mu Yeruzaalemu, temukyaddayo kukaaba; tewali kubuusabuusa agenda kubasaasira bwe mulisaba okubajuna; amangu nga yaakawulira okulaajana kwammwe agenda kubaanukula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe abantu abali mu Sayuuni abatuula e Yerusaalemi, temuliddamu kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw'olimukaabirira, bwaliwulira eddoboozi ery'oku kaaba kwo, alikwanukula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abantu ba Siyooni ababeera mu Yerusaalemu, temukyaddamu kukaaba maziga. Mukama alibakwatirwa ekisa: alibawa kye mumusaba oluliwulira nga mukaaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abantu balituula ku Sayuuni e Yerusaalemi: tolikaaba nate maziga; talirema kukukwatirwa kisa olw'eddoboozi ery'okukaaba kwo; bw'aliwulira alikwanukula.