Isaiah 30:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde Omukama abaleetera ennaku ng'ekyokulya, n'obuyinike ng'ekyokunywa, kyokka Omuyigiriza wammwe taliddayo kwekisa, n'amaaso gammwe mulimulaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona, abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era newakubadde nga Mukama ng'akuwa emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okubonyaabonyezebwa, naye abayigiriza bo nga tebakyakwekebwa nate, naye amaaso go galiraba abayigiriza bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde Mukama alibaleka okulaba ennaku n'okubonaabona, kyokka ye yennyini alibayigiriza. Era Ye, Omuyigiriza wammwe, mulimulaba, talibeekweka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama newakubadde ng'akuwa emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okubonyaabonyezebwa, naye abayigiriza bo nga tebakyakwekebwa nate, naye amaaso go galiraba abayigiriza bo: