Isaiah 30:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba mukyukidde ku ddyo oba ku kkono, amatu gammwe galiwulira eddoboozi emabega wammwe nga ligamba nti: “Lino lye kkubo, mwe muba mutambulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwonakyamiranga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira ekigambo ekikuvaako emabega nga kyogera nti, “Lino lye kkubo, litambuliremu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, munaawuliranga eddoboozi lye eribava emabega nga ligamba nti: “Lino lye kkubo, lye muba mutambuliramu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono.