Isaiah 30:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo mulijaajaamya ebifaananyi bya balubaale ebisaanuuse bye mwasiigako ffeeza wammwe n'ebyo ebimaaleko zaabu. Mugenda kubisuula eri ng'ebiwero ebijama, nga mubirangiriza nti: “Muddire eri!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olyonoona bifaananyi byo ebyole ebya bikibwako ffeeza, n'ebyo ebya bikibwako zaabu, olibisuulira ddala ng'ekintu ekitali kirongoofu; olibigamba nti, “Muveewo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo mulizikiriza ebifaananyi ebyole ebibikkiddwako ffeeza, n'ebifaananyi ebiweese ebya zaabu, ne mubyeggyako ne mubisuula ng'ebintu ebitali birongoofu, nga mugamba nti: “Mugende butadda!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulyonoona ebibikka ku bifaananyi byo ebyole ebya ffeeza, n'ebisaanikira ku bifaananyi byo ebifumbe ebya zaabu: olibisuulira ddala ng'ekintu ekitali kirongoofu; olikigamba nti Vaawo.