Isaiah 30:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ku buli lusozi olugulumivu ne ku buli kasozi akawanvu, kunaabangako emyala gy'amazzi egikulukuta, ku lunaku olw'okusanjaga okunene, eminaala lwe girigwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku buli lusozi olugulumivu ne ku buli kasozi akawanvu kuliba emigga egikulukuta emirongooti bwe girigwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigo by'abalabe bammwe bwe birigwa era ne battibwa bangi, amazzi mangi amalungi galikulukuta nga gava mu nsozi empanvu, ne mu busozi obugulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku buli lusozi olugulumivu ne ku buli kasozi akawanvu kuliba ensulo n'emigga gy'amazzi, ku lunaku olw'okutta abangi, ebigo bwe birigwa.