Isaiah 30:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitangaala eky'omwezi kiriba ng'eky'enjuba, ate eky'enjuba kirigejja emirundi musanvu okwenkana ekitangaala eky'ennaku omusanvu, ku lunaku Omukama lw'alisiba ebiwundu by'abantu be, n'awonya n'obuvune bw'abatuusizzaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omusana gw'omwezi guliba ng'omusana gw'enjuba, n'omusana gw'enjuba gulyeyongera emirundi musanvu, ng'omusana gw'ennaku omusanvu, ku lunaku Mukama lw'alisibirako ekinuubule eky'abantu be n'awonya ekiwundu eky'okufumitibwa kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku Mukama lw'alisibirako ebinuubule n'ebiwundu by'abantu be n'abawonya obulumi bwabwe, omwezi gulyaka nga njuba, n'ekitangaala ky'enjuba kiryeyongera emirundi musanvu: eky'omu lunaku olumu, kibe ng'eky'ennaku omusanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusana gw'omwezi guliba ng'omusana gw'enjuba, n'omusana gw'enjuba gulyeyongera emirundi musanvu ng'omusana gw'ennaku omusanvu, ku lunaku Mukama lw'alisibirako ekinuubule eky’abantu be n'awonya ekiwundu eky'okufumitibwa kwabwe.