Isaiah 30:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabe, erinnya ly'Omukama lijja nga liva ewala, n'obusungu obubuubuuka, ne mu kire ky'omukka ekikwafu; emimwa gye gijjudde obusungu, n'olulimi lwe, muliro ogusenkenya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, erinnya lya Mukama liva wala n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire; emimwa gye gijjudde ekiruyi, n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, erinnya lya Mukama liva wala, nga lyaka n'obusungu bwe, era nga linyooka omukka omuziyivu; emimwa gye gijjudde okunyiiga, n'olulimi lwe luli ng'omuliro ogwokya;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obuyinza bwa Mukama n'ekitiibwa kye birengererwa wala, omuliro n'omukka ne biraga obusungu bwe obwokya. Ebigambo by'ayogera biba muliro ogwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, erinnya lya Mukama liva wala, nga lyaka n'obusungu bwe, era nga linyooka omukka omuziyivu emimwa gye gijjudde okunyiiga, n'olulimi lwe luli ng'omuliro ogwokya: