Isaiah 30:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukka gw'assa guli ng'omugga ogubimba, ogutumbiira okutuuka ku bulago. Akuŋŋunta amawanga mu lugali olw'okuzikiriza; assa mu mba z'amawanga eddobo erigawabya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago. Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'omukka gwe guli ng'omugga ogwanjaala, ogutuuka ne mu bulago, okukuŋŋunta amawanga n'olugali olw'okuzikiriza, n'olukoba oluwabya luliba mu mba z'amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akulembezaamu kibuyaga w'omukka gwe gw'assa, ali ng'omugga ogwanjaala amazzi ne gakoma mu bulago, n'ayerawo buli ggwanga ly'alumbye n'alizikiririza wamu n'entegeka zaalyo eziwabya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omukka gwe guli ng'omugga ogwanjaala, ogutuuka ne mu bulago, okukuŋŋunta amawanga n'olugali olw'obutaliimu: n'olukoba oluwabya luliba mu mba z'amawanga.