Isaiah 30:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muliyimba ng'abali mu kiro omukuzibwa embaga enkulu, ng'emitima gijaganya ng'abambuka olusozi lw'Omukama nga bafuuwa endere, ku lwazi lwa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu; omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muliba n'oluyimba ng'olwo oluyimbibwa ekiro nga bakwata embaga entukuvu; omutima gwo guliba n'essanyu, ng'omuntu bw'agenda ng'afuuwa endere okujja ku lusozi lwa Mukama, Olwazi lwa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe muliyimba oluyimba, ng'oluyimbibwa mu kiro ky'embaga entukuvu. Muliba basanyufu ng'abo abatambulira ku luyimba lw'endere, nga bambuka Olusozi lwa Mukama, Olwazi Yisirayeli mwe yeewogoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muliba n'oluyimba ng'ekiro bwe bakwata embaga entukuvu n'essanyu ery'omu mutima, ng'omuntu bw'agenda n'endere okujja ku lusozi lwa Mukama, eri Olwazi lwa Isiraeri.