Isaiah 30:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye obukuumi bwa Faraawo bulibafuukira ensonyi, n'ekittuluze kya Misiri kiribafuukira obuswavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa, n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obukuumi bwa Falaawo bulifuuka ensonyi zammwe, n'obuddukiro mu kisiikirize ky'e Misiri kuliba kuswala kwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaanyi ga kabaka w'e Misiri kyegaliva gabafuukira ensonyi, n'okwesiga okukuumibwa Misiri, ne kubaleetera okuswala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaanyi ga Falaawo kyegaliva gabeera ensonyi zammwe, n'okwesiga ekisiikirize eky'e Misiri kuliba kuswala kwammwe.