Isaiah 30:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate buli lukuba Omukama lw'alibakubanga n'omuggo gwe ogubonereza, luligenderanga ku nvuga y'ebide n'ennanga; alirwanyisa mu ntalo ng'omukono gwe agusitudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muggo Mukama gw’anakukubanga n’oluga lwe olubonereza, guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli, ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli Mukama lw'anamukubanga n'omuggo gwe, wanaabangawo ng'ebivuga by'ebitaasa n'ennanga, nga mukama alwana nabo mu ntalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama aliba abakuba n'emiggo okubabonereza, nga bo abantu be bacacanca na nnyimba ku bitaasa n'ennanga. Mukama yennyini ye alirwanyisa abalabe abo Abassiriya, ng'akozesa ebyokulwanyisa ebitiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli lwe banaamukubanga n'omuggo ogwalagirwa, Mukama gw'alimuteekako, wanaabangawo ebitaasa n'ennanga: era alirwana nabo mu ntalo ez'okunyeenya.