Isaiah 30:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tofeti yategekebwa dda, yategekebwa dda olwa kabaka. Ekinnya ky'enkoomi kyongeddwako obuwanvu n'obugazi, omuliro n'enku biri mu bungi; omukka gw'Omukama oguli ng'engezi y'ekibiriiti, gwe gunaakikuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka; ky’ateekebwateekebwa kabaka. Ekinnya kyakyo eky’omuliro kiwanvu era kigazi, kijjudde omuliro n’enku; omukka gwa Mukama gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Tofesi kyategekebwa okuva edda; weewaawo, kyateekerwateekerwa kabaka; akifudde kiwanvu era kigazi, kijjudde omuliro n'enku; omukka gwa Mukama, ng'omugga gwa salufa gukyasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ettambiro eddene Tofeti lyategekebwa kuva dda. Lya kyoto ekiwanvu ekinene nga mulimu n'enku nnyingi. Mwe mulyokerwa kabaka w'Assiriya. Mukama alifuuwa omukka oguli ng'obuganga bw'ebibiriiti, ne gukikoleezaako omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Tofesi kyategekebwa okuva edda; weewaawo, kyateekerwateekerwa kabaka; akifudde kiwanvu era kinene: ekikoomi kyakyo muliro na nku nnyingi; omukka gwa Mukama, ng'omugga ogw'ekibiriiti, gukyasa.