Isaiah 30:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bonna bagenda kuswazibwa olw'okubeera abantu abatayinza kubagasa, abatabayamba yadde okubaganyula, okuggyako okubaleetera ensonyi n'okuweebuuka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
buli muntu aliswazibwa olw’eggwanga eritabagasa, abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso, okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna baliswala olw'abantu abatayinza kubagasa, abatayamba newakubadde okugasa, okuggyako okubaleetera ensonyi era ekivume.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abantu ba Buyudaaya balikwatibwa ensonyi, olw'okwesiga abantu abatayinza kubagasa wadde okubayamba, naye ab'okubaswaza n'okubaleetera okunenyezebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna balikwatirwa ensonyi abantu abatayinza kubagasa abatayamba newakubadde okugasa wabula ensonyi era ekivume.