Isaiah 30:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obubaka ku bisolo by'omu Negevu: Nga bayita mu nsi ey'ennaku n'obuyinike, ey'empologoma enkazi n'ensajja, ey'amasalambwa n'amabuukizi, obugagga bwabwe ababaka babutisse ku migongo gy'endogoyi, n'amakula gaabwe ku mabango g'eŋŋamiya, bagatwalira nnyini eggwanga eritabaliimu muganyulo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno: Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku ne batawaanyizibwa mu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi, erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwa nga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi, n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamira nga boolekedde ensi etaliimu magoba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugugu ogw'ensolo ez'omu bukiikaddyo. Bayita mu nsi ey'okulaba ennaku n'okubalagalwa, omuva empologoma enkazi n'ensajja, embalasaasa n'omusota ogw'omuliro ogubuuka, nga batikka obugagga bwabwe ku ndogoyi ento, n'ebintu byabwe ku mabango g'eŋŋamira, nga bagenda eri abantu abatagenda kubagasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino kye kyalangibwa nga kifa ku nsolo ez'omu bukiikaddyo: ababaka bayita mu nsi ey'emitawaana n'obubenje, erimu empologoma ensajja n'enkazi, n'emisota egy'obusagwa, n'egibuuka era egiwandula omuliro. Batikka ebyobugagga byabwe ku ndogoyi n'ebintu byabwe eby'omuwendo ennyo ku mabango g'eŋŋamiya, babitwalire abantu abo abatagenda ku bagasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugugu ogw'ensolo ez'omu bukiika obwa ddyo. Bayita mu nsi ey'okulaba ennaku n'okubalagalwa, omuva empologoma enkazi n'ensajja, embalasaasa n'omusota ogw'omuliro ogubuuka nga batikka obugagga bwabwe ku mabega g'endogoyi ento, n'ebintu byabwe ku mabango g'eŋŋamira nga bagenda eri abantu abatagenda kubagasa.