Isaiah 31:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze abo abakkirira mu Misiri okufunayo obuyambi, abassa obwesige mu mbalaasi, abeesiga ebigaali byabwe kubanga bingi n'abeebagazi baabwe kubanga ba maanyi nnyo, naye abatafa ku Mutuukirivu wa Yisirayeli, yadde okwebuuza ku Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa, abeesiga embalaasi, abeesiga amagaali gaabwe amangi, abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okubeerwa, era abeesiga embalaasi; era abeesiga amagaali kubanga mangi, n'abeebagala embalaasi kubanga ba maanyi mangi; naye tebatunuulira Mutukuvu wa Isiraeri oba okwebuuza ku Mukama!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze abo abagenda e Misiri okunoonyaayo obuyambi, nga beesigayo embalaasi awamu n'amagaali, kubanga waliyo mangi era nga n'abaserikale abeebagala embalaasi balina amaanyi mangi, ne bateesiga Mukama Omutuukirivu wa Yisirayeli kumusaba abayambe, wadde okumwebuuzaako!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okubeerwa, era abeesiga embalaasi; era abeesiga amagaali kubanga mangi, n'abeebagala embalaasi kubanga ba maanyi mangi; naye tebatunuulira Mutukuvu wa Isiraeri so tebanoonya Mukama!