Isaiah 31:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso nga naye mugezi, asobola okuleeta akabenje; ebigambo bye tabijjulula. Agenda kusitukira mu mayumba g'aboonoonyi, n'ag'abo abayamba abakola obubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi; tajjulula bigambo bye. Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu, ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye era naye wa magezi, era alireeta obubi, so talikomyawo bigambo bye, naye aligolokokera ku nnyumba y'abo abakola obubi ne ku bayambi baabo abakola ebitali bya butuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amanyi bulungi, ky'akola. Ye ye yaleeta akabi era takyusa ky'agambye; wabula abonereza abakola ebibi, era n'abo ababawagira okubikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye era naye wa magezi, era alireeta obubi, so talikomyawo bigambo bye: naye aligolokokera ku nnyumba y'abo abakola obubi ne ku buyambi bw'abo abakola ebitali bya butuukirivu.