Isaiah 31:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bw'ati bw'aŋŋambye: “Kyenkana ng'empologoma oba omwana gw'empologoma bwe guvuumira ku kye gukutte, ekibinja ky'abasumba ne bwe kikungibwa okugirumba, n'etetiisibwa kuleekaana kwabwe, yadde okutawaanyizibwa enduulu zaabwe, n'Omukama w'Amagye bw'alikkirira okulwanira ku lusozi Siyoni ne ku busozi bwalwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti, “Ng’empologoma bwe wuluguma, empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba kiyitibwa awamu okugirumba, tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe, newaakubadde oluyoogaano lwabwe. Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta, okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋamba nti, Ng'empologoma oba empologoma ento bw'ewulugumira ku muyiggo gwayo, n'abasumba abangi bwe bayitibwa okugirumba, teritiisibwa na ddoboozi lyabwe, oba okukangibwa oluyoogaano lwabwe, bw'atyo Mukama ow'eggye bw'alikka okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku kasozi kaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Ng'empologoma bw'ewulugumira ku nsolo yaayo gy'eyizze, n'etetiisibwa abasumba abangi bwe bayitibwa okugirumba ne bwe baboggola ne baleekaana, bwe ntyo nange Mukama Nnannyinimagye bwe ndikka okulwanira ku Lusozi Siyooni, ku ntikko yaalwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋamba nti Ng'empologoma bw'ewulugumira ku muyiggo gwayo n'empologoma ento, abasumba abangi bwe bayitibwa okugirumba, teritiisibwa na ddoboozi lyabwe, so teryetoowaza lwa kuyoogaana kwabwe: bw'atyo Mukama ow'eggye bw'alikka okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku kasozi kaako.