Isaiah 31:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ng'ebinyonyi bwe byetooloola mu bbanga, n'Omukama w'Amagye bw'alitaasa atyo Yeruzaalemu; alikikuuma n'akinunula; alikiyitako n'akiwonya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu, bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi; alikikuuma, n’akiwonya, alikiyitamu n’akirokola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'ennyonyi ezibuuka, bw'atyo Mukama ow'eggye bw'anaakuumanga Yerusaalemi; anaakikuumanga n'akinunula, alikitaliza n'akiwonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyonyi nga bw'ebwama ku kisu okutaasa obwana bwayo, nange Mukama Nnannyinimagye bwe nnaakuumanga Yerusaalemu ne nkitaliza ne nkiwonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'ennyonyi ezibuuka, bw'atyo Mukama ow'eggye bw'anaakuumanga Yerusaalemi; anaakikuumanga n'akiwonya, aliyitako n'akirokola.