Isaiah 31:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe abantu ba Yisirayeli, mudde eri oyo gwe mwajeemera ne muyitiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukyukire oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe Abayisirayeli, mukyuke mudde gye ndi, Nze gwe mwajeemera ennyo bwe mutyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukyukire oyo gwe mwajeemerera ddala, mmwe abaana ba Isiraeri.