Isaiah 31:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ku olwo, buli omu alikanyuga eri ebifaananyi bye ebya balubaale ebya ffeeza ne zaabu bye mwakozesa engalo zammwe enkozi z'ebibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ku lunaku luli buli omu alisuulira ddala ebifaananyi bye ebya ffeeza, n'ebifaananyi bye ebya zaabu, engalo zammwe mmwe bye zaabakolera okuba ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kijja kutuuka mwenna musuule eri ebifaananyi bye musinza, ebya ffeeza n'ebya zaabu bye mwekolera, ebibaleetera okwonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ku lunaku luli balisuulira ddala buli muntu ebifaananyi bye ebya ffeeza, n'ebifaananyi bye ebya zaabu, engalo zammwe mmwe bye zaabakolera okuba ekibi.