Isaiah 31:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Assuri alittibwa ekitala ekitali kya musajja, ekitala ekitali kya muntu kiribakavvula; balidduka ekitala, naye abavubuka baabwe balissibwa ku kasanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu; ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo. Alidduka ekitala, n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Omwasuli aligwa n'ekitala ekitali ky'abantu; n'ekitala ekitali ky'abantu kirimulya, era alidduka ekitala, n'abavubuka be balikozesebwa emirimu egy'obuwaze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo Abassiriya balittirwa mu lutalo naye nga tebattibwa bantu. Balittibwa baggweewo. Abassiriya abo balidduka olutalo, n'abavubuka baabwe balifuulibwa abaddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Omwasuli aligwa n'ekitala ekitali kya bantu; n'ekitala ekitali kya bantu kirimulya: era alidduka ekitala, n'abavubuka be balifuuka musolo.