Isaiah 31:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwazi lwabwe luligwa olw'okutya, abagabe baabwe balisattira olwa bendera y'olutalo.” Omukama y'ayogedde, nnannyini muliro oguli mu Siyoni, nnannyini kabiga akali mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya, n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,” bw’ayogera Mukama nannyini muliro oguli mu Sayuuni, era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwazi lwe lulivaawo olw'okutya, n'abaduumizi baabwe baliduma ne baleka awo bendera y'olutalo, bw'ayogera Mukama, omuliro gwe guli mu Sayuuni n'ekikoomi kye kiri mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka waabwe alidduka ng'atidde, n'abakungu be balitya nnyo ne balekawo bbendera yaabwe.” Mukama asinzibwa mu Siyooni n'ayokerwa ebitambiro mu Yerusaalemu, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'olwazi lwe lulivaawo olw'okwesisiwala, n'abakulu be balikeŋŋentererwa olw'ebendera, bw'ayogera Mukama, omuliro gwe guli ku Sayuuni n'ekikoomi kye mu Yerusaalemi.