Isaiah 32:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bbanga lya mwaka nga gumu, mmwe abeemanyi mwekka, mujja kutengera; anti okukungula emizabbibu kulikoma, n'okukuŋŋaanya ebibala tekulibaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka gumu oba n’okusingawo, mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya, amakungula g’emizabbibu galifa, n’amakungula g’ebibala tegalijja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulinakuwalira ennaku ezirisussa omwaka, mmwe abakazi abawulira nga temulina kye mwetaaga; kubanga ebikungulwa eby'emizabbibu birifa, okukungula tekulituuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abakazi, kaakano temuliiko kye mufaayo, naye mu bbanga lya mwaka nga gumu mulisoberwa ne mutya, ng'emizabbibu ku olwo gye mukungula, tewali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulinakuwalira ennaku ezirisussa omwaka, mmwe abakazi abataliiko kye mulowooza: kubanga ebikungulwa eby'emizabbibu birifa, okukungula tekulituuka.