Isaiah 32:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olw'ensi y'abantu bange: ensi eduumye enkandwa n'amaggwa; mukaabire amayumba gonna omusanyukirwa, n'ekibuga kino eky'amasanyu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’olw’ensi ey’abantu bange, ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti. Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu, na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku nsi y'abantu bange kulimera amaggwa ne katazamiti; weewaawo, ku nnyumba zonna ez'essanyu mu kibuga eky'essanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi y'abantu bange ya kumeramu maggwa wamu ne katazzamiti. Mukaabire amayumba n'ekibuga omwasanyukiranga abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku nsi y'abantu bange kulimera amaggwa ne katazamiti; weewaawo, ku nnyumba zonna ez'essanyu mu kibuga eky'essanyu:
Recommended Reading