Isaiah 32:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga olubiri lulyabulirwa, ekibuga ekifumbekedde abantu kirifuuka matongo. Ekigo n'omunaala gw'omukuumi birifuuka malungu emirembe gyonna, endogoyi ez'ettale gye zinyumirwa okubeera, birifuuka malundiro ga magana;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo ekigo kirirekebwawo, ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa. Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna, ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olubiri lulirekebwawo; ekibuga eky'abantu abangi kiriba kifulukwa; olusozi n'ekigo ekirengererwako biriba mpuku ennaku zonna, ssanyu lya ntulege, ddundiro lya magana;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olubiri lulyabulirwa. Ekibuga ekyali kikubyeko abantu, kirifuuka kifulukwa. Olusozi n'eminaala ebirengererwako biriba matongo ennaku zonna, omuligitira entulege, era omulundirwa amagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga olubiri lulirekebwawo; ekibuga eky'abantu abangi kiriba kifulukwa; olusozi n'ekigo ekirengererwako biriba mpuku ennaku zonna, ssanyu lya ntulege, ddundiro lya magana;